OMULAMUZI Emmanuel Baguma owa kkooti enkulu mu Kampala ataddewo ku Lwokuna nga July 3,okuwulira okusaba kw'okweyimirirwa okwa Dr Kiiza Besigye n'omuyambi we Hajji Obed Lutale.
Omulamuzi olwaleero bwatuuse mu kkooti agambye kasooke awe olunaku okuwulira okusaba kwa Besigye bwatyo n'alagira balooya be basseemu okusaba kuno enkya nga July 1, ate oludda oluwaabi lwanukule nga July 2, olwo kkooti etuule nga July 3,2026 okuwulira ensonga zaabwe ku ssaawa kunaana ezomuttuntu.
Webigidde nga balooya baabwe Erias Lukwago naye musibe mu kkomera ate Martha Karua okuva e Kenya bamusaako ekiragiro obutaddamu kulinya kigere ku ttaka lya Uganda.