Amawulire

Ow'emyaka 50 agambibwa ebbujje ery'emyaka 5 n'alitta akwatiddwa poliisi

Kigambibwa nti omwana, yabuziddwawo okuva e Kituru mu muluka gw'e Bulatse mu ggombolola y’e Bufuma era abazadde bwe banoonyeza n'abula, ensonga kwe kuzikwasa poliisi.

Ow'emyaka 50 agambibwa ebbujje ery'emyaka 5 n'alitta akwatiddwa poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Buduuda, ekyagenda mu maaso n'okukunya omusajja ow'emyaka 50 agambibwa okuwamba omwana omuwala ow'emyaka 5, oluvannyuma n'amutta omulambo n’agusuula mu nsiko.

Margaret Namasopo 5, yattiddwa era nga poliisi ekutte Tongolo 50, omutuuze w'e Bumayoka e Buduuda, gwe balumiriza nti gwe baaseembye okumulaba naye.

Kigambibwa nti omwana, yabuziddwawo okuva e Kituru mu muluka gw'e Bulatse mu ggombolola y’e Bufuma era abazadde bwe banoonyeza n'abula, ensonga kwe kuzikwasa poliisi.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti omulambo, guzuuliddwa mu nsiko era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kukwata
Mwana
Poliisi