Poliisi e Buduuda, ekyagenda mu maaso n'okukunya omusajja ow'emyaka 50 agambibwa okuwamba omwana omuwala ow'emyaka 5, oluvannyuma n'amutta omulambo n’agusuula mu nsiko.
Kigambibwa nti omwana, yabuziddwawo okuva e Kituru mu muluka gw'e Bulatse mu ggombolola y’e Bufuma era abazadde bwe banoonyeza n'abula, ensonga kwe kuzikwasa poliisi.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti omulambo, guzuuliddwa mu nsiko era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.