Amawulire

Poliisi e Iganga ekutte abantu mukaaga abagambibwa okweyita kyebatali ne batigomya abantu

POLIISI e Iganga  eriko abantu Mukaaga b'ekutte, kubigambibwa nti baludde nga beeyita kye batali ne banyaga ssente ku bantu n'okubatulugunya.   

Abamu ku bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Iganga , eriko abantu Mukaaga b'ekutte, kubigambibwa nti baludde nga beeyita kye batali, ne banyaga ssente ku bantu n'okubatulugunya.

Bano, kigambibwa nti babadde beyita bakoze mu State House, era n'okweyita Natasha Karugire,muwala w'omukulembeze w'eggwanga nti olwo ne babba.

Abakwatiddwa , kuliko Musitaafa Mugudya, 17, Murishidi Maganda 18, Muhammed Waiswa 21, Jamiru Kaima 15, Sabath Ngobi ne Shafick Mulawa 17 nga bonna batuuze b'e Nandekula A , mu muluka gw'e Bulubandi mu Ggombolola y'e Nakigo e Iganga.

Mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi , amagye n'ebitongole ebirala , bazudde essimu 9 ezigambwa okweyambisibwa mu bufere buno, era nga baliko bingi bye bazudde ebiyinza okuyamba mu kwongera okunoonyereza.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East,  Micheal Kasadha, agambye nti abakwatiddwa, bakuumirwa ku poliisi y'e Jinja, ng'okubuuliriza kukolebwa.

Tags: