Amawulire

Oluguudo lwa Busega-Mpigi Expressway luzaalidde aba minisitule ebizibu

PULEZIDENTI Museveni awadde ekiragiro ne bawummuza abakungu ba minisitule y’ebyentambula lwa bigambibwa nti, baakozesa bubi ssente ezaali ez’okukolab oluguudo lwa Busega-Mpigi Expressway.

Ekitundu ku luguudo lwa Busega-Mpigi Expressway.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI Museveni awadde ekiragiro ne bawummuza abakungu ba minisitule y’ebyentambula lwa bigambibwa nti, baakozesa bubi ssente ezaali ez’okukolab oluguudo lwa Busega-Mpigi Expressway.
Mu bbaluwa Pulezidenti gye yawandiikidde Kaliisoliiso wa Gavumenti, Aisha Naluzze eriko ennaku z’omwezi nga June 26, 2026 yalagidde bawummuze era banoonyereze ku bayinginiya ba minisitule okuli; Patrick Muleme, Raymond Kiyaga n’eyategeerekeseeko erya Ahimbisibwe be balumiriza okubulankanya ssente z’okukola oluguudo lwa Busega Mpigi (23km) ne kiromita endala 20 eziyunga ku Expressway. Pulezidenti era yalagidde n’omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule, Bageya Waiswa agende mu luwummula olukake mu kiseera ng’okunoonyereza kugenda mu maaso. Gavumenti yeewola obuwumbi 600 okuva mu Africa Development Bank nga za kukola oluguudo lwa Busega-Mpigi Expresswayokutuusa nga luwedde. We twogerera omulimu baakagukolako ebitundu 40 ku 100 byokka naye ssente zonna zaggwaawo.

Bayinginiya abali b’enguzi baakyusa oluguudo gye lwalina okuyita nga bamaze n’okuliyirira abantu ne baluzza awalala mu ttaka lyabwe ne baddamu okwesasula.
Omulimu ogwalina okutwalaobuwumbi 600 gwalinnya era kati gwetaagisa obuwumbi 1,300.
Ababbi abo balina okulwanyisibwa”, ebbaluwa ya Pulezidenti bwe yagambye.
Ofiisi ya Kaliisoliiso yalagiddwa ekwatagane ne Henry Tumwiine, Pulezidenti gwe yayogedde ng’omubalirizi we. Omuyambi w’omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule (Undersecretary), Barbara Namugambe yalagiddwa agira atambuzab emirimu gya minisitule okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde. Oluguudo lwa Busega-Mpigi Expressway lutandikira Busega mu Kampala ne luggukira mu tawuni y’e Mpigi nga luyita mu byalo 21 nga lutuuka e Kiringente ne mu bitundu by’e Wakiso.
Endagaano y’okulukola yakolebwa mu 2019 wakati wa Gavumenti ya Uganda ne Chinan Construction and Engineering Company Ltd ng’omulimu gwalina okuggwa mu
May wa 2024.
Kyokka ebitundu oluguudo gye lwalina okuyisibwa lwakyusibwa ne baluyisa mu bitundu ebirimu entobazi ekyavaamu omulimu okwesiba. Ssente z’okuliyirira  bannannyini ttaka zaalinnya ne kituusa Gavumenti okwewola ssente endala obuwumbi 900.
Ekyewuunyisa mu kiseera kino, omulimu gukyetaaga obuwumbi obulala 280 okusasula abali mu bitundu ebirimu entobazi.Minisita w’ebyentambula n’emirimu, Fred Byamukama yakakasizza kuwummula kwa bayinginiya n’omuwandiisi ow’enkalakkalira n’agamba nti, Pulezidenti yataddewo ennaku 100 okutereeza minisitule.
Ku Lwokubiri nga October 28, 2025 Palamenti yayisa ekiteeso ekikkiriza Gavumenti okwewola ssente za mirundi ebiri okuva mu African Development Bank (obuwumbi
781 n’obuwumbi 117) ekyaleetebwa minisita omubeezi ow’ebyamakolero, DavidBahati.
 Kyokka lipooti eyakolebwa ababaka abatono eyasomebwa Charles Tebandeke (Bbaale) nga kuliko n’omukono gwa Hassan Kirumira (Katikamu South) ne Muwanga Kivumbi (Butambala) baasaba Palamenti ereme kukkiriza kwewola ssente, omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti asooke addemu okunoonyereza ku muwendo omutuufu.
“Nsonga ki Gavumenti gy’egenda okuwa ebakozesa kiromita emu ku bukadde bwa doola za America 14 era nsaba Palamenti ebeere nneegendereza”, Muwanga Kivumbi bwe yategeeza.
ABATUUZE AWAYITA OLUGUUDO KYE BAGAMBA
Saulo Lubega, Ssentebe w’eggombolola y’e Kirengenteyagambye nti, ng’abatuuze awayita oluguudo si basanyufu kuba omulimu gwali gwakumala emyaka etaano, kyokka gugenda mu myaka 10 nga tewali kitambula. Ekisinga okubaluma kwe kulaba nga ssente z’omuwi w’omusolo zigenda nnyingi kuba abakola oluguudo basiiba mu kutunda mafuta n’ebikozesebwa era emisango tegiva ku poliisi. “Olumu bakola ebikwekweto ne bakwata ababba ebikozesebwa naye tetumanyi misango egyo gye giggweera,” Lubega bwe yagambye. Eyali Ssentebe w’eggombolola y’e Muduuma, Musa Kakembo yagambye nti, ng’abakulembeze ku mitendera egya wansi tewali kintu kyonna kye baategeezebwa
ku luguudo luno nga lukolebwa

Tags: