Maj Gen James Birungi eyali akulira ekitongole ekinonyereza ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) asimbiddwa mu kkooti y'amaggye nabalala bana ne bavunaanibwa ebya bbomu n’okutta abantu.
Birungi ku kkooti aleeteddwa ne bofiisa ba UPDF abalala basatu nga bambadde bulungi yunifoomu za UPDF ne nkofiira ne batwalibwa mu kaguli gye bakuumiddwa oluvannyuma ne basimbibwa mu kkooti gyebasomeddwa emisango.
Byonna okugenda maaso nga bannamawulire abaabadde ku kkooti bagaliddwa okumala essaawa eziri mu ttaano ngera bagyiddwako kkamera n’amasimu gaabwe.
Emisango egibavunaaniddwa gy'ekuuta ku bbomu ezakubwa okumpi ne kijjukizo ky’abajulizi e Munyonyo nga June 3,2025 ssaako abantu abagambibwa okubeera abatujju abattibwa ku Kalerwe nga bigambibwa baali bategekese kukuba bbomu.
Emisango gibasomeddwa akulira kkooti yamaggye Brigadier General Richard Tukacungurwa .Bonna baagyegaanye.
Oludda oluwaabi lwa kkooti nga lukulemberwa Col Rapheal Mugisha bakyagenda mu maaso n’okunonyereza era baasabye baweeyo obudde. Birungi nebanne kkooti yabsindise mu kkomera okutuusa nga August 3, 2026 lwebanadda okuwulira okunonyereza wekutuuse.