Amawulire

Ab'obutale basanyukidde pulezidenti ku ssente za Katale LooniBya

ABASUUBUZI mu butale obw’enjawulo okwetooloola eggwanga baacamuse bwe basomeseddwa enkola ya Gavumenti ey’okubawola ssente za Katale Looni mwe bagenda okuyita okubawola ssente ez’amangu bakulaakulanye emirimu gyabwe.Ttiimu okuva mu Kampala eyakulembeddwamu omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’obutale, Faridah Kimuli yamaze wiiki nnamba nga asisinkana abakulembeze b’abasuubuzi mu butale obusoba mu musanvu.

Abamu ku bakulembeze b’abasuubuzi nga bali n’omuwabuzi wa pulezidenti ku Butale, Faridah Kimuli (alaze ekigalo kya NRM).
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUUBUZI mu butale obw’enjawulo okwetooloola eggwanga baacamuse bwe basomeseddwa enkola ya Gavumenti ey’okubawola ssente za Katale Looni mwe bagenda okuyita okubawola ssente ez’amangu bakulaakulanye emirimu gyabwe.
Ttiimu okuva mu Kampala eyakulembeddwamu omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’obutale, Faridah Kimuli yamaze wiiki nnamba nga asisinkana abakulembeze b’abasuubuzi mu butale obusoba mu musanvu.

Yatandikidde mu katale k’e Jinja akanene gye yatuukiridde abakulembeze ne bamuloopera ebintu eby’enjawulo ebibanyiga okuli, obukulembeze mu katale. Muky. Faridah Kimuli yategeezezza nti, bazudde nti, bangi ku basuubuzi n’abakulembeze b’obutale e Jinja tebamanyi nkola ya Katale Looni ate nga ssente ezo zireeteddwa kubayamba basituke ku ddaala.
Yalaze nti, baasisinkanye abakulembeze b’abasuubuzi ku butale omuli akali ku luguudo lwa Lubasi, Napia ne Madhvan era bavuddeyo nga bategedde nti, ensonga ya Katale Looni abasuubuzi bagirindiridde n’essanyu era bagenda kugibasomesa amangu ddala basobole okubawola ssente.
Ttiimu ya Faridah Kimuli oluvannyuma yeeyongeddeyo mu katale k’e Soroti, Lira, Nakatuna, Hamba, Kikinjagi ne Agip yonna nga basooka kusisinkana bakulembeze b’abasuubuzi ne bababuulira ebizibu bye balina.
Ebimu ku bizibu bye baazudde mulimu amasannyalaze okuba ku buseere, abasuubuzi abamu okusenguka mu butale ne batundira ku nguudo, abamu okusasuzibwa empooza mu butale ate nga yaggyibwawo, abamu basasula ssente z’obupangisa nnyingi mu butale bwa Gavumenti ze batasobola, obumu ku butale bukkirizibwamu abawola ssente ne batuuka ku ddaala ly’okubowa emmaali y’abasuubuzi.
Faridah Kimuli bonna be yasisinkanye yabanjulidde entegeka ya Pulezidenti eya Katale Looni okubakulaakulanya n’abategeeza nti, abakulembeze be basoose okusomesa oluvannyuma basomese abasuubuzi baabwe n’okubategeka babawole ssente.
Enkola ya Katale Looni yatandikibwawo pulezidenti Museveni okuyamba abasuubuzi okubawola ssente okutandikira ku 100,000/- okutuuka ku kakadde 1,000,000/- awatali magoba. Mu Kampala, ssente zino abamu ku basuubuzi mu butale nga ku Kaleerwe, St. Balikuddembe n’obulala bazifunyeeko era abamu baatandika dda okuzikozesa.

Tags: