POLIISI etadde amaanyi mu bitundu by'e Iganga , gy'erumiriza nti we wasinze okubeera abafere abaludde nga babba n'otulugunya Bannayuganda.

Ezimu ku ssimu ezigambibwa okuba enzibe ezaakwatiddwa mu kikwekweto.
Mu bano, mulimu abali wanso w'emyaka 18 era nga babakutte n'essimu 9 ezigambibwa okuba nti ze babadde bakozesa ku mitimbagano .
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga , Kituuma Rusoke, annyonnyodde nti emisango mingi egizze giroopebwa ku bafere mu kitundu ekyo, era n'agamba nti bongeddemu amaanyi mu kaweefube w'okubayigga.