Amawulire

Poliisi etegeezezza nti e Iganga we wasinze okubeera abafere abaludde nga babba n'otulugunya Bannayuganda.

Kino kiddiridde ebibinja by'abafere abazze bakwatibwa, nga n'ekisembyeyo, poliisi n'amagye baakikoze ne bayoola Musanvu abagambibwa nti baludde nga beeyita muwala w'omukulembeze w'eggwanga Natasha, ne babba.

Poliisi etegeezezza nti e Iganga we wasinze okubeera abafere abaludde nga babba n'otulugunya Bannayuganda.
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

POLIISI etadde amaanyi mu bitundu by'e Iganga , gy'erumiriza nti we wasinze okubeera abafere abaludde nga babba n'otulugunya Bannayuganda.

Kino kiddiridde ebibinja by'abafere abazze bakwatibwa, nga n'ekisembyeyo, poliisi n'amagye baakikoze ne bayoola Musanvu abagambibwa nti baludde nga beeyita muwala w'omukulembeze w'eggwanga Natasha, ne babba.

Ezimu ku ssimu ezigambibwa okuba enzibe ezaakwatiddwa mu kikwekweto.

Ezimu ku ssimu ezigambibwa okuba enzibe ezaakwatiddwa mu kikwekweto.

Mu bano, mulimu abali wanso w'emyaka 18 era nga babakutte n'essimu 9 ezigambibwa okuba nti ze babadde bakozesa ku mitimbagano .

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga , Kituuma Rusoke, annyonnyodde nti emisango mingi egizze giroopebwa ku bafere mu kitundu ekyo, era n'agamba nti bongeddemu amaanyi mu kaweefube w'okubayigga.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Iganga