Amawulire

Ow'emyaka 10 afiiridde mu kidiba ky'essomero e Nagguru

OMWANA ow'emyaka 10 afiiridde mu kidiba ky'essomero e Naguru mu Kampala, gye babadde bamuyigiririza okuwuga.

Ow'emyaka 10 afiiridde mu kidiba ky'essomero e Nagguru
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMWANA ow'emyaka 10 afiiridde mu kidiba ky'essomero e Naguru mu Kampala, gye babadde bamuyigiririza okuwuga.

George Nsawa y'agambibwa okuba nga yabbidde ku ssomero lya Hill Preparatory School e Nagguru mu Nakawa division mu Kampala.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti banoonyereza okuzuula oba nga ddala wabaddewo obulagajjavu.

Ate ebyo nga bikyali awo, waliwo omwana omulenzi ow'emyaka 17 ng'abadde yeetikka ku bizimbe, bamusanze ng'afiiridde mu nnyumba mu Kisugu e Makindye..

Tags:
Amawulire
Nagguru
Kufa
Kidiba
Ssomero
Myaka