OMWANA ow'emyaka 10 afiiridde mu kidiba ky'essomero e Naguru mu Kampala, gye babadde bamuyigiririza okuwuga.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti banoonyereza okuzuula oba nga ddala wabaddewo obulagajjavu.
Ate ebyo nga bikyali awo, waliwo omwana omulenzi ow'emyaka 17 ng'abadde yeetikka ku bizimbe, bamusanze ng'afiiridde mu nnyumba mu Kisugu e Makindye..