Amawulire

Eyawaabira Jim Muhwezi aggyeyo omusango

Eyawaabira Jim Muhwezi aggyeyo omusango

Jim Muhwezi ng'awuubira
By: Ssaava Peter, Journalist @New Vision

KKOOTI enkulu e Rukungiri ekkirizza Fred Turyamuhweza okuggyayo omusango gweyawabira minisita w'obutebenkevu era omubaka wa Rujumbura County Maj Gen Jim Muhwezi n'akakiiko k'ebyokulonda ng'awakanya ebyava mu kulangirira.

Okusinziira ku kiwandiiko kya kkooti, omulamuzi wa kkooti enkulu e Rukungiri Susan Kanyange yakkirizza Turyamuhweza okujjayo omusango gw'ebyokulonda ovuli ku No. 005 of 2026.

"Tumuheirwe Fred Turyamuhweza versus Muhwezi Jim Katugugu and Electoral Commission."
Mukiwandiiko kyekimu, Kanyange yalagidde okuliyirira akakiiko k'ebyokulonda ssente zonna zekataddemu.

Ekiragiro kya Kanyange kyabaddewo nga  July 7th 2026 ku kkooti e Rukungiri mu maaso ga Kanyange ssaako ba looya ba Muhwezi n'akakiiko k'ebyokulonda Edgar Ayebazibwe ne Kenneth Ainamani, ate nga ba looya ba Turyamuhweza, naye yennyini tebabaddewo.

Ekiwandiiko kya Kkooti

Ekiwandiiko kya Kkooti

 Muhwezi eyavuganyiza ku kaadi ya NRM yalangirira kubuwanguzi bw'omubaka wa Rujumbura County e Rukungiru ku bululu 25,007 ate nga Turyamuhweza eyamuwabira yafuna obululu 23,307 nga yajjira ku kaadi ya People's Front for Freedom [PFF].
Turyamuhweza yatwala omusango mu kkooti enkulu e Rukungiri ng'awakanya ebyaalangirira mukulonda kukifo ekyo ekya Rujumbura County.

Omusango yagutekayo nga April 1, 2026 ng'ayita mu balooya be aba M/S Ruyondo & Company advocates n'awabira Muhwezi n'akakiiko k'ebyokulonda.

Tags: