GAVUMENTI ekakasizza bw’egenda okuzimba eddwaaliro ly’emitima eddene mu kibuga Jinja oluvannyuma lw’okufuna yiika z’ ettaka 5 okussaako pulojekiti eno.
Akulira eddwaaliro eddene mu kibuga Jinja, Dr. Alfred Yayi ye yalangiridde bino mu kuggulawo olusiisira lw’ebyobulamu mwe baalongoserezza abaana 17 emitima kw’abo 21 abaabadde balina okulongoosebwa.
Dr. Yayi yagambye nti, abaana 5, abaasigalidde baakulongoosebwa mu bwangu ddala e Mulago ku bwereere. Yagambye nti, olusiisira luno lwe lukyasinze okulongoosebwamu abalwadde b’ emitima abangi nga lwamaze wiiki nnamba n’abasawo abakugu 20 okuva e Kampala n’abalala 40 okuva e Jinja.
Gwabadde mulundi gwakusatu ng’abasawo ba Uganda Heart Institute balongoosa abaana emitima. Abaalongooseddwa baavudde mu disitulikiti za Busoga, Mukono, Kayunga, Buikwe ne Mbale.
Omumyuka w’akulira Uganda Heart Institute, Dr. Peter Lwabi yategeezezza nti, amalwaliro g’emitima amalala gagenda okuzimbibwa e Mbarara ne Lira okwongera okutuusa obujjanjabi okumpi n’abantu mu bitundu byabwe.