Amawulire

Omusajja akubye mukazi we payipu n'amutta nga bafunye obutakkaanya

Bino, bibadde ku kyalo Kabulooka mu muluka gw'e Ggogonya mu ggombolola y'e Kitega e Mubende, Daniel Byaruhanga, gy'agambibwa okukuba Merabo Kyarisiima 38 payipu, n'afiira mu ddwaaliro lya Kyenda.

Omusajja akubye mukazi we payipu n'amutta nga bafunye obutakkaanya
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Mubende eyigga omusajja agambibwa okukuba mukazi we payipu, n'amutta.

Bino, bibadde ku kyalo Kabulooka mu muluka gw'e Ggogonya mu ggombolola y'e Kitega e Mubende, Daniel Byaruhanga, gy'agambibwa okukuba Merabo Kyarisiima 38 payipu, n'afiira mu ddwaaliro lya Kyenda.

Kigambibwa nti baafunye obutakkaanya, omusajja n'akuba omukazi nti embeera bwe yatabuse n'amutwala mu ddwaaliro lya Kyenda, gy'afiiridde.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti oluvannyuma, omusajja adduse era bamuyigga.

Avumiridde ebikolwa eby'obutabanguko mu maka nga kino kivudde ku mwenge n'ebiragalalagala ebisusse.

Tags:
Mukazi
Payipu
Kutta
Musajja