Amawulire

Bp. Ssebaggala akubye abasawo akaama;'Muwe omulimu gwammwe ekitiibwa'

OMULABIRIZI w’e Mukono eyawummula, James William Ssebaggala akunze abasawo mu ggwanga okuteeka ku bbali ebizibu ebikosa omulimu gwabwe, basse essira ku kuwa abantu obujjanjabi obubasuubirwamu.

Bp. Ssebaggala, mukyalawe Sr. Tezirah n'abayizi abaasinze bannaabwe ku matikkira.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULABIRIZI w’e Mukono eyawummula, James William Ssebaggala akunze abasawo mu ggwanga okuteeka ku bbali ebizibu ebikosa omulimu gwabwe, basse essira ku kuwa abantu obujjanjabi obubasuubirwamu.
Ng’akulembeddemu amatikkira ag’omulundi ogwomukaaga ag’ettendekero ly’abasawo erya St. Elizabeth’s Institute e Mukono, Bp. Ssebaggala yakunze abayizi abaatikkiddwa n’abasawo abali mu kisaawe ky’obujjanjabi okukola bye baatendekebwa, okubeera abantubalamu n’okwewala ebikolwa ebityoboola eddembe ly’abalwadde.

“Ebisoomooza biyinza obutabula mu mirimu gyammwe, omuli okukola essaawa empanvu, ebikozesebwa ebitamala, okukola okusalawo okuzibu n’embeera ezimalamu amaanyi.
Wabula ebyo tebirina kubeera nsonga ebasindika mu kulya nguzi n'okutulugunya abalwadde,” Ssebaggala bwe yagambye n'abasaba okuwa abalwadde ekitiibwa n’okubazzaamu essuubi.
Okusinziira ku mutandisi w’ettendekero lino erimaze emyaka 22 nga libangula abayizi, baatikkidde abayizi 161 nga 131 balenzi. Bano baakuguse mu busawo omuli abakebera omusaayi, abatabula eddagala, abajjanjabi, abazaalisa ne bannansi nga bano baafunye satifikeeti ne dipulooma.
Omusawo omutendeke eyawummula, nga ye mukyala w’omulabirizi Ssebaggala, Sr. Tezirah Ssebaggala naye yakuutidde abaatikkiddwa okussa essira ke bye bayigiriziddwa basobole okuteeka ettoffaali ku byobulamu bya Uganda. Amatikkira era geetabiddwaako  ’abakulu b’ebika okuli oweffumbe, Omutaka Walusimbi Yusuf Mbirozankya n’Engeye, Omutaka Kasujja Kyesimba Kakande Sheba, abagguddewo ekizimbe eky’emyaliiro ena ki Elizabeth Nanteza Guggwa Building ng’oluvannyuma
Bp. Ssebaggala yakiwadde omukisa. Omutaka Walusimbi yawadde abayizi abaatikkiddwa amagezi obutalwawo kuwasa na kufumbirwa basobole okwezimba.

Tags: