ABAFERE bayingidde bbanka ne babba ssente ku kaasitoma abadde azitutteyo okuzitereka.

Kawala ng'annyonnyola.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti omukozi ono yayingidde bbanka n’afuna ennamba (Token) gy’alina okukozesa okugenda ku kawunta.
Yabadde akyalinze mu layini, omusajja we yamusanze n’amugamba nti yabadde ayagala kuvungisa doola okuzizza mu ssente za Uganda nti naye yabadde talina densite, kwe kumusaba amuyambeko ng’akozesa eyiye, kye yakkirizza.
Waayise akaseera katono, omusajja omulala n’abeegattako nga yeefudde agenda okubayambako mu kuvungisa ssente era ne bagamba omukozi okutwalayo doola ku kawunta azinvungise ng’akozesa densite ye, abalekere ensawo eyabaddemu ssente naye kye yakoze.
Bwe yamaze okuzivungisa abasajja bano baamusenzesenze okubawerekerako wabweru wa banka nti bamuweeyo akasiimo ne balinnya naye boda ne bagenda e Kabuusu. Baayingidde ekirabo ky’emmere nga beefudde abagenda okuteesa ku kasiimo ke baabadde bagenda okumuwa.
Mu kirabo kino, omukozi ono yafulumyeko katono wabweru n’alekawo ensawo omwabadde ssente wabula bwe yakomyewo yasanze abasajja bagenze ng’ensawo bamulekeddemu bipapula ebizingezinge nga ssente.
POLIISI EKUTTE BATAANO
Kawala yagambye nti poliisi y’e Nateete oluvannyuma lw’okufuna omusango yatandikiddewo okunoonyereza mwe yakwatidde abantu bataano abateeberezebwa okubeera n’akakwate ku bubbi buno.
Abaakwatiddwa kuliko; Shafik Ndaula, Ali Kiwalyanga, Michael Nsubuga ne Brian Muyanga n’ebaako by’eboogeza era waliwo ebyazuuliddwa okuli ssente obukadde 30, nga ziteeberezebwa nti ze zimu ku zabbiddwa, emmotoka ssatu nga kiteeberezebwa nti zaagulwa mu ssente zino.
Kawala yagambye, poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza.