BANNABIZINESI balaajanidde Gavumenti eddemu yeetegereze emisolo egiteereddwaawo kyenkana ku buli ku kyamaguzi.
Balumiriza nti emisolo gino giri waggulu nnyo ekintu ekyongede okukalubya ebyenfuna.

Abamu ku bammemba ba BNI bwe babadde batongoza 'Chapter' empya
Omu ku bakulu mu kibiina kino, James Echobo yagambye nti okusinga bakulembeza enkola eya 'Agali awamu' nga buli munnabizinesi asobola okunoonyeze munne akatale okusinzira ku by'amaguzi by'abeera atunda.

" Abali awamu bakola ssente ezeegasa, bannabizinesi muyige okwekwata ekitole," Echobo bwe yakubirizza abali mu bizinensi.
Wabula bakyasanze okusomoozebwa olw'emisolo emingi egibaggyibwako aba URA nga gino baagala gikkakanyizibweko nabo basobole okweyagalira mu bizinensi zaabwe .
Ekirala basabye gavumenti eyongere okubateerawo looni ku magoba amatono ddala basobole okwewola bongere mu bizinensi.