TEHRAN, Iran
IRAN etuusizza tekinologiya omupya gw’ekozesa okukasuka obwaguuga bwa mizayiro yewuunyisizza America ne Yisirayiri mu lutalo olupya. Mizayiro ekika kya ‘ballistic
missile,’ ze zisinga amaanyi mu nsi, mu bunene, okukuba ewala n’okwonoona we zikubye era ezo, ze zimu ku nsonga lwaki America ne Yisirayiri zaalumba Iran mu February w’omwaka guno gagisaanyeewo.
Amawanga gombi gakubye Iran tageti ku tageti nga ne mu lukuba olupya olwatandise wiiki ewedde, kikakasiddwa nti tageti empya ezigenda mu 400 ze zaakakubwa ng’ezisinga zibadde nfo omuterekebwa mizayiro ezo.
Ng’awera okwongera okufiira ku Iran eyeeremye okuggula akagolomolo, Pulezidenti Donald Trump owa America yagambye nti, bagenda kukuba eggwanga eryo okutuusa lwe linaagondera ddala likaggule.
Ebyo yabadde abyogera awayaamune bannamawulire ba Fox News era olwabimaze, abatunuulizi we baatandikidde okulondoola engeri Iran gy’ezze ewona okusaanawo mu lutalo luno nga we baateera emikono ku ndagaano nga June 17, Katikkiro wa Yisirayiri Benjamin Netanyahu yategeeza bwe baali bakubye enfo za Iran ezigenda mu 10,000.
Eggwanga lye, lye lyali lisinga okwagala okusaanyizaawo ddala mizayiro ezo nga ligamba nti, Iran yaziweeseza Yisirayiri ky’ava yazifiirako okuzisaanyaawo n’engeri gye zikasukibwa esaanirewo ddala. Ekyewuunyisa, Iran ekyazirina wadde nnyingi zikubiddwa.
SSAYANSI OMUPYA IRAN GW’EKOZESA OKUKASUKA MIZAYIRO ENNENE
Ekyewuunyisa ekisinga, y’engeri ate Iran gy’esobola okukasuka mizayiro ze yasigaza, n’empya z’eweesa so ng’enkambi mwe yasinziiranga okuzikasuka, ezisinga zikubiddwa.
Abakugu baazudde ssaayansi ayitibwa ‘Underground missile Silos.’ Okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia, tekinologiya ono, yatandikira mu Russia bwe yali ekyakulembera omukago gwa Soviet Union. Yali mu lutalo lwa ‘Cold War’, luyite olw’ekimpukumpuku ng’ettunka ne America bwe baali ku mbiranye. Yaweesanga mizayiro ez’amaanyi ekika kya Inter – Continental Ballistic Missile okwerinda America
ssinga egirumbisa ennyonyi zaayo ez’amaanyi okuli B-2, B-1 Lancer ne B-52 long Range Heavy Bomber. Mu nkola ya tekinologiya ono, mizayiro obwaguuga zisimirwa agannya aganene wansi mu ttaka. Bazisimbayo nga ziyimiridde ng’omuti, ky’oyinza okuyita,‘carves deep vertical shafts.’ Agannya ago gasimwa wakati mu mpataanya z’agasozisozi ne bazisimbayo nga bw’osimba ekitooke, ne zibikkibwako agasaniya aganene.
Bazibikkako n’enfuufu ng’ennyonyi enkessi ne bwe zikozesa ebyuma bya ‘radar eby’amaanyi ebiketta emmundu, endala eza drone ezeevuga zokka ne bwe zikozesa zi ‘sensors’ ezikonga olusu, tezisobola kuketta mizayiro ezo mu gannya wansi.
Setirayiti ezinoonya nazo zikola kiro na misana kyokka nzibu za kulaba.
ENGERI MIZAYIRO GYE ZIKUBWA OKUVA MU GANNYA NE ZIKUBA TAGETI
Nga zisimbiddwa mu gannya, zibeera zitunudde waggulu kyokka ng’amapeesa gonna gaabalwa dda bannassaayansi nga zipimye tageti ze zirina okukuba. Akadde bwe katuuka nga bwe bali kati mu lutalo ne basalawo okukuba erimu ku mawanga ge baba basazeewo okugeza; Kuwait, Yisirayiri, Oman, Qatar, Jordan, Bahrain n’amalala nga bwe kizze kibeera, banyiga bunyizi ppeesa ne litegula agasaniya agazibisse ne zeenasula.
Zisituka mu gannya n’amaanyi mu muliro omungi n’erikka ery’amaanyi erisigala emabega n’enfuufu mw’esitukira, mizayiro n’eyolekera. Mu ssaayansi ono Iran gwe yasuubula mu Russia, avuga mizayiro eno abeera ku limooti mu gannya agalala mu ddungu kyokka ate si awo mizayiro w’evudde okwewala okulabibwa omulabe. Ky’ova olaba nti, mizayiro ezo bazisuddesudde mu bitundu eby’enjawulo mu ddungu. Bw’ekasukibwa nga bakozesa endala eziri mu bifo ebirala.
N’engeri mizayiro zino gye zitambuzibwa wansi mu gannya ‘ndalamu’ ng’enjogera y’ennaku zino. Wansi eyo mu bitundu bingi mu ddungu lya Iran, abakambwe b’eggwanga eryo mu budde bwa Ayatollah Ali Khamenei eyattibwa ku ntandikwa y’olutalo luno, yabalagira ne bakola ebibuga mu ttaka bye bayita ‘under ground cities,’ gye baweeseza ebyokulwanyisa ne bbomu za nukiriya. Eyo gye baziweeseza nen bazitambuliza eyo era okuzituusa mu gannya gye bazikukulira era gye bazinasulira okukuba tageti. Olutalo lukyagenda mu maaso nga ne mu kiro kino America eyatandise okulemesa emmeeri za Iran okutambuza amafuta, yayongedde okukuba ebyokulwanyisa by’eggwanga eryo mu kagolomolo. Iran nayo eyasoose okulabula bw’egenda okufiirawo ng’ekataasa okukasigaza, yayongedde okwesasuliza ku mawanga ago waggulu ng’egamba nti America gy’esinziira okugikuba.