Amawulire

Omuwala eyeesudde mu mazzi nga nnyina amulemeddeko okugenda ku ssomero aziikiddwa!

Priscilla Nannyonjo ow'e Tamanakali e Bukomero mu disituliliti y'e Kiboga ng'abadde asoma mu S.3  yagudde mu ddaamu y'omugagga John Kinaalwa ku Lwokubiri n'afa.

Omuwala eyeesudde mu mazzi nga nnyina amulemeddeko okugenda ku ssomero aziikiddwa!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUYIZI ow'emyaka 15 owa Bukomero SS eyagudde mu mazzi, yaziikiddwa ku Lwokuna wakati mu maziga okuva mu b’enganda n'abazadde.

 Priscilla Nannyonjo ow'e Tamanakali e Bukomero mu disituliliti y'e Kiboga ng'abadde asoma mu S.3  yagudde mu ddaamu y'omugagga John Kinaalwa ku Lwokubiri n'afa.

Okugwa mu kidiba, nti kyaddiridde okufunamu obutakkaanya ne nnyina Fatuma Nalugwa nti ng'amusindikiriza okugenda ku ssomero  kyokka omuwala n'amuddamu nga bwe yabadde ayozezza yunifoomu ye, nga mbisi.

Kigambibwa nti ekyaddiridde omuwala kufuluma ennyumba ng'akaaba era nnyina bwe yamugoberedde, yasanze engatto  ku mabbali g'ekidiba  ekiri mu kibanja kya John Kinaalwa.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, yagambye nti omulambo gwaggyiddwayo ne gwekebejjebwa n'oluvannyuma ne guweebwa abooluganda ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

Kitaawe agamba nti tabadde na buzibu bwonna era nga babadde bamulabirira bulungi.  Yagasseeko nti yaziikiddwa e Mulagi e Kiboga ewa Hajji Edrisa Luyulika.

Tags:
Amawulire
muwala
Ssomero
Kidiba
Nnyina
Kuziika
Kugenda