Amawulire

Abayizi abalala 3 abaabadde basimattuse akabenje e Kapchorwa nabo bafudde!

Akabenje kano, kaaguddewo, abayizi ba King David Jnr School e Ndejje Namasuba bwe baabadde bava okulambula ebiyiriro bya Sipi falls, bbaasi n'eremerera ddereeva waayo n'ekoona ejjinja n'egwa ne yeefuula emirundi egiwerako, n'etta n'okulumya abawerako.

Abayizi abalala 3 abaabadde basimattuse akabenje e Kapchorwa nabo bafudde!
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

Abayizi abalala basatu ku abo abaafunye akabenje e Kapochorwa nabo bafudde olwo omuwendo ne guwera abantu 24 abaakafiira mu akabenje ka bbaasi eno.

Akabenje kano, kaaguddewo, abayizi ba King David Jnr School e Ndejje Namasuba bwe baabadde bava okulambula ebiyiriro bya Sipi falls, bbaasi n'eremerera ddereeva waayo n'ekoona ejjinja n'egwa ne yeefuula emirundi egiwerako, n'etta n'okulumya abawerako.

Abasatu abalala abafudde, be bamu ku abo ababadde baweebwa obujjanjabi mu ddwaaliro lya Kaserem.

Emirambo gy'abayizi 18 gitegeerekese ate 6 teginnategeerekeka, ng'esatu giri mu ggwanika ly'eddwaliro e Mbale n'emirala esatu giri mu ddwaaliro e Kapchorwa.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agambye nti abayizi 23 bakyagenda mu maaso n'okufuna obujjanjabi e Kapchorwa.

Aggasseeko nti abo bonna abayizi abaasimattuse, basiddwa mu bbaasi ya gateway ne bakomezebwawo e Kampala so nga ne ddereeva wa bbaasi eyo, bakyamuyigga.

Tags:
Amawulire
Kabenje
Kapchorwa
Kusimattuka
Kufa