Minisita wa gavumenti z'ebitundu Balaam Barugahara ne minisita omubeezi owa gavumenti z'ebitundu, Justine Nameere Nsubuga katono balemere mu nsozi z’e Wanale mu disitulikiti y’e Mbale gye babadde bagenze okulambuula oluguudo olwalimibwa obubi, mmotoka zaabwe bwe zitubidde era ne bazifulumamu ne batambuza ebigere. OLuguudo olwaseeredde enkuba.
Barugahara ne Nameere babadde bagenze okulambuula oluguudo oluva e Bukingara paka Budwale oluweza kkiromita 6 mu ggombolola y’e Budwale mu disitulikiti y’e Mbale ku Lwomukaaga, olugambibwa nti lwasaasaanyizibwaako obukadde 300 kyokka omulimo ogwakolebwa si gwa mutindo.
Baminisita nga beegattiddwako omubaka owa Bungokho North Shafiga Wanyenya, n’owa Bungokho Central Mukhamudu Masaba awamu n’akulira abakozi mu disitulikiti y’e Mbale, Ssentebe wa LC IV ne RDC n’abakulembezze abalala balambudde oluguudo okuva gye lutandikira mu kifo ekimanyiddwa nga Boda paka gye lukoma.
Nabende yategeezeza nti olunaku olumu yasanga yinginiya n’amubuuza lwaki yali assaako ettaka mu kifo kya malamu ku luguudo, nti yinginiya yamuddamu nti omulimo gwali kukola gwa kikugu n’amugobaganya.
Yayongeddeko nti enkuba bw’etonnya libeera bbi nga n’emmotoka teziyita era kino minisita Barugahara ne Nameere baakyelabiddeko n’agaabwe nga balilambula.
Bwe baabadde bakomawo ku kyalo Bukingara abalala we bayita ku bbooda, waliwo we baatuuse, ekire ne kibabuutikira nga tebasobola kulaba gye balaga oba okulaba gye bava waggulu eyo mu nsozi z’e Wanaale.
Oluguudo lwaseeredde nga baddereeva batya nti mmotoka zandikkirira mu bisirikko oba oluwonko olwabadde ku mabali g’ekkubo.
Baminisita bombi baavuddemu ne batandika kutambuza bigere, kyokka ku babiri bano tewali yabadde na gambuutusi wabula Nameere eyalabise ng’attidde obuseerezi buno yawaniriddwa abaserikale be ne bamutambuza mpolampola ku bunkenke obw’ekitalo.
Mmotoka ne kabangali za Poliisi nazo zaakaluubiriddwa okulinnya olusozi wakati mu buseerezzi obw’amaanyi. Minisita Barugahara yategeezezza nti oluguudo lwe baalambudde gavumenti yalusaasaanyaako obukadde 300 okuluyiwako malamu wabula kye baasanze kyabakanze nga baakizudde nti lwayiibwako ttaka lyoka, ate terwassibaako yadde ebigoma.
Barugahara yalagidde Poliisi eyakulembeddwa omumyuka wa RPC owa Elgon Region Peter Twala okukwata yinginiya agende akole sitatimenti.
Minisita Nameere naye yavumiridde omuze ogw’abakozi ba gavumenti obutafaayo kuweereza batuuze kyokka ne balya ssente z’omuwi w’omusolo era nti abantu nga abo basaanye okusibibwa.
Nameere yasabye akulira abakozi mu disitulikiti y’e Mbale okulaba nga ku ssente eziddizibwayo mu ggwanika lya gavumenti ery’ebyensimbi waakiri aggyeko ezimu zikole ku nguudo obuweereza busobole okutuuka ku bantu bulungi.
Oluvannyuma baminisita n’abakulembezze abalala beeyongeddeyo okulambuula enguudo endala ne pulojekiti endala ne bakomekerezza n’ekimeeza ku kisaawe kya Mbale Division Council.