Amawulire

Poliisi evuddeyo ku by'abaserikale abaakubye amasasi mu bantu ewa Kisekka

Poliisi evuddeyo ku katambi akasaasaanye ku mitimbagano ng'abaserikale mu ngoye za bulijjo ne yunifoomu bakuba amasasi mu bbanga okugumbulula abantu nga bwe beeyongerayo.

Poliisi evuddeyo ku by'abaserikale abaakubye amasasi mu bantu ewa Kisekka
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi evuddeyo ku katambi akasaasaanye ku mitimbagano ng'abaserikale mu ngoye za bulijjo ne yunifoomu bakuba amasasi mu bbanga okugumbulula abantu nga bwe beeyongerayo.

Kino kyabadde kikwekweto ekyakoleddwa ewa Kisekka mu Kampala, poliisi bwe yabaddeko b'ekwata kyokka abamu ku bamakanika ne bagezaako okulemesa abaserikale okubatwala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti baasobodde okukwata abantu babiri era ne bagezaako okuzza embeera mu nteeko nga bakuba amasasi mu bbanga okutangira abantu abaabadde babakolako efujjo.

Agasseeko nti tewali yalumiziddwa wadde okufa era nga bagenda mu maaso n'okubuuliriza.

Tags:
Kisekka
Poliisi
Baserikale
Masasi
Kukwata
Mateeka