Amawulire

Kkooti eragidde abavunaanibwa mu gw’okutta Joan Kagezi okwewozaako

Abalamuzi bana aba kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna bagambye nti okusinziira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi abawawaabirwa balina okwewozaako.

Kkooti eragidde abavunaanibwa mu gw’okutta Joan Kagezi okwewozaako
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

ABAGAMBIBWA okutta omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi Namazzi balagiddwa okwewozaako.

 

Abalamuzi bana aba kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna bagambye nti okusinziira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi abawawaabirwa balina okwewozaako.

Abamu ku bavunaanibwa mu musango guno.

Abamu ku bavunaanibwa mu musango guno.

Bano kuliko John Kibuuka, John Masajjage ne Nasur Abdullah nga bavunaanibwa obutemu n’obutujju.

 

Kkooti bw’etyo yazudde nti Kagezi yattibwa, okuttibwa kwe kwali kumenya mateeka, nga abaakikola baalina ekigendererwa ekirowozeddwako n’ettima, era abawawaabirwa beenyigira mu kutta Joan Kagezi nga munnaabwe Kiseka bwe yabuulira kkooti ebyaliwo mu kuluka olukwe, okutta n’oluvannyuma lw’okutta.

 

Abawawaabirwa noolwekyo baalina okwewozaako okusinziira ku bujulizi obwaleetebwa kubanga tebuteekawo kubuusibwabuusibwa ku bawawaabirwa wabula bubateekera ddala ku kifo awattibwa Kagezi noolwekyo kibakakatako okwewozaako okusobola okusaabulula n’okuggyawo ebyo ebyaleetebwa oludda oluwaabi kubanga bulaga nti abawawaabirwa tebaali bassaalumanya abaasangibwa awattibwa omugenzi wabula beenyigiramu.

 

Abalamuzi baasinze kwesigama ku bujulizi bwa Daniel Kisekka gwe baali bavunaanibwa naye gye yakkiriza emisango era n’asalirwa emyaka 35 olwo n’awa obujulizi ku ngeri gye baafuna ddiiru y’okutta Kagezi ne ssente ze baasasulwa ssaako engeri gye baagenda mu ssabo okusiba omusango. Basazeewo okulayira nga beewozaako okutandika nga July 13, 2026.

 

Tags:
Amawulire
Kagezi
Kwewozaako
Kulagira
Kutta
Joan Kagezi