SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu alabudde abayizi ku nkozesa ey’omutimbagano nga sainga tebagikozesa bulungi byebakolerako biyinza okubalemesa okuyambibwa naddala ng’abalina okubayamba beebo bennyini bebanyiiza nga basinziira ku mutimbagano.
Yagambye nti omutimbagano mulungi nnyo naye bw’ogukozesa obubi osobola okuva ku mulamwa. Ku lutalo oluli emitala w’amayanja, Kaziimba yasabye abantu bulijjo okuyiga okwogerazaganya okusinga okulwanagana okwewala okuyiwa omusaayi era n’asaba mu nnaku entukuvu ze tulimu okwewala ebikolwa ebitalaga nsonga ku lwaki Yesu yabafiiririra.
Akulira essomero lino Agatha Nakisekka Ssenyonjo annyonnyodde obukulu bw’okwebaza kuno era n’akubiriza abayizi okusigala nga beeyisa bulungi okuyiga bwe babeera mu bantu bannaabwe. AbaasukKuluma ku balala mu bigezo bya siniya eyookuna n’eyoomukaaga baasimiddwa n’amabaluwa awamu n’ebirabo.