Amawulire

Abantu bana bafiiridde mu kabenje ku lwe Masaka

ABANTU bana bafiiriddewo n'omulala omu naddusibwa mu ddwaliro ng'embeera mbi oluvannyuma lwa lukululana y'amafuta okutomeregana bwenyi ku bwenyi ne loole ebadde etambuza eby'amaguzi zombi ne zisigala bipapajjo

Emmotoka ez'aakoze akabenje
By: Sseruwu John Bosco, Journalist @New Vision
ABANTU bana bafiiriddewo n'omulala omu naddusibwa mu ddwaliro ng'embeera mbi oluvannyuma lwa lukululana y'amafuta okutomeregana bwenyi ku bwenyi ne loole ebadde etambuza eby'amaguzi zombi ne zisigala bipapajjo
Emmotoka ez'afunye akabenje

Emmotoka ez'afunye akabenje

 
Okusinziira ku Twaha Kasirye omwogezi wa poliisi mu Masaka East, akabenje kano kaguddewo mu kiro ekikeesezza ku Lwokusatu e Matanga mu kitundu ekimanyiddwa nga Ndikuttamadda ku luguudo lwa Kampala-Masaka. 
 
Ategeezezza nti lukululana ekika kya Benz ebaddeko ennamba z'e Congo,CGO 9638AF/19 ebadde eva ku ludda lw'e Masaka ng'edda Kampala yeyingiridde loole Fuso namba UBQ 238D ebadde eyolekera mu bitundu by'e Mbarara. 
 
Obudde we bukeeredde nga loole y'ebyamaguzi ekyali mu kifo kino nga bannanyini maali bakyasitaana okugiggya mu byuma ebibadde byefunnyizza.
Ekifo awagudde akabenje

Ekifo awagudde akabenje

 
Kasirye ategeezezza nti era basitaanye okugya omulambo gw'omugoba wa lukululana Shanshuwa Kanyamunyu mu byuma mwe gubadde guwagamidde,n'egyabalala abasatu ababadde mu Fuso ababadde batanategerekeka mannya  nga n'atwaliddwa mu ddwaliro naye abadde tanazuuka bimukwatako wetukoledde eggulire lino.
 
Ayongeddeko nti byebakazuula biraga nti akabenje kano kavudde ku mugoba wa lukululana okuvugisa ekimama ng'agezaako okuyisiza ku lusozi awafunda nti kwe kwambalagana n'owa Fuso.
 
Asabye bekikwatako okutereeza mu kitundu kino wagambye nti walinga awafuuse akattiro era n'asaba abagoba b'ebidduka okusigala nga begendereza nti basobole okwewala embeera nga eno.
Emmotoka ez'akooza akabenje

Emmotoka ez'akooza akabenje

 
Abatuuze n'abatambuze abasangiddwa nga beetegereza awagudde akabenje kano nabo baliko bye boogedde wakati mu kulaajanira bekikwatako okugaziya ekitundu ky'oluguudo mu kifo kino.
 
 Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika e Masaka okwekebejjebwa n'emmotoka zombi ziggyiddwawo ne zitwalibwa ku poliisi
Tags: