GAVUMENTI ng’eyita mu ssaabakunzi w’ekibiina kya NRM, Rose Mary Nansubuga Sseninde esiimye emirimu egikoleddwa omugenzi Hajji Jabeli Musoke abadde ssentebe w’ekyalo ky’e Maganjo okumala emyaka 40.

Omulambo gw'omugenzi bwe gwabadde guleeteddwa mu maaso ga kkanso y'e Nabweru okugukungubagira.
Ono yaziikiddwa e Busiika mu disitulikiti y’e Luwero. Omugenzi nga tannaba kuziikibwa baasoose mu kkanso ya diviizoni y’e Nabweru er wano sipiika wa diviizoni Sam Mugabo yategeezezza nti bafiiriddwa omusajja abadde omukulembeze omutuufu era omuwi w’amagezi mu bassentebe banne b’akulembera.

Ssaabakunzi wa NRM Sseninde ng'ayogerako eri abakungubazi.
Mmeeya wa diviizoni y’e Nabweru Robert Maseruka Mute agambye nti wadde nga Jabeli afudde, enteekateeka z’okulonda zijja kugenda mu maaso era ku Lwokutaano lwe bagenda okulaba akwatira NRM bendera mu kalulu kano.
Omubaka wa munisipaali y’e Nansana, Zambaali Bulasio Mukasa asabye abantu okuleka omukululo mu nsi ate RDC Charles Lwanga n’asaba bakkansala ekyalo bakikyuse erinnye bakituume Hajji Jabeli Musoke cell.

Entaana eya ffuuti omunaana Jabeli gye yalaama okumuziikamu.
Kkanso bw’ewedde atwaliddwa e Busiika okuziikibwa. Gavumenti ekiikiriddwa Hon Rosemary Seninde etenderezza emirimu gy’omugenzi n’ategeeza nti abantu nga bano balina okubalabirako mu kifo ky’okukola ebyo ebitabayamba. Omugenzi aziikiddwa mu ntaana ya ffuuti 8 ze yalaama.