OMUDUUMIZI wa Poliisi mu ggwanga Abass Byakagaba akubirizza abasirikale okukola buli kisoboka okulaba nga balwanyisa obubenje ku nguudo ne ku mazzi.
Bino abyogedde asinziira ku bayizi b'essomero lya King David abafira mu Kabenje e Kapchorwa bwabadde atongoza amato ga police y'okumazzi 5 ku kitebe Kya Poliisi y'okumazzi e Kigo.

Abas Byakagaba ng'ayogera
Okusinziira ku akulira Police y'okumazzi CP Kirungi Sulaiman agamba nti police yagula amaato 9 nga bakaleetako 5 ng'amalala agenda kujja omwezi ogujja Agamba nti kino kigenda kubayamba nyo mu kukola emirimu gyabwe ku mazzi.
Agamba nti amaato gano gagenda kwongera okunweza eby'okwerinda ku lake Albert. Asabye babayambeko ku mbeera ya basirikale ba marine nadasa abasirikale we basula ne biffo amato we gasimba.
Abas Byakagaba asabye abasirikale okusala amagezi okulaba nga bagendezza ku bubenje obubeera ku ngudo.

Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanqga ng'ayogera
Asabye abasirikale okukola buli kyebasobola okukuuma abantu n'ebyabwe era nga bagenda kukola ekisoboka okugula n'okutendeka abasirikale okutuka ku mutendera ogwetagisa. Asabye abasobola okwegata ku Poliisi okukuma edembe.
Asabye abantu okwewala okutuka akabindo ku mazzi ne ku ngudo. Agamba nti gyebugya agenda kutekawo etendekero lya abasirikale b'okumazzi. bisimbako esira