Amawulire

Minisita Jonard Asiimwe Akiiki asisinkanye bannasayansi e Makerere n'abasuubiza nti Gav't egenda kubawagira okwongera okusitula omutindo gwa sscience

Minisita Jonard Asiimwe Akiiki asisinkanye bannasayansi e Makerere n'abasuubiza nti Gav't egenda kubawagira okwongera okusitula omutindo gwa sscience 

Minister nga ali mu college of engineering e Makerere
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Zulaika Iqra Nakato 

MINISITA wa Science,Tekinologiya n'obuyiiya Hon. Eng. Jonard Asiimwe Akiiki  akulembeddwamu  amyuka cansala wa yunivasite y'e Makerere Pulof.Barnabas Nawangwe , akyadde ku Makerere University  gy'asisinkanye abayiiya, abayizi n'abanoonyereza ku by'ensoma abakola ku nteekateeka ez'enjawulo ezikozesa tekinologiya n'obuyiiya okutumbula enkulaakulana y'eggwanga.

Minisita ng'ali mu kisenge kya Software e Makerere

Minisita ng'ali mu kisenge kya Software e Makerere

Mu kukyala kuno, Minisita alambudde ebitongole eby'abayiiya omuli  okukola ebintu ebiggya (product design),   okukola pulogulaamu za kompyuta (software development),College of Engineering, Design, Art ne Technology  ne College of Natural science, okukuba ebintu mu 3D printing, mmotoka ezikozesa amasannyalaze (electric mobility)wamu n'e emirimu mingi egy’obunoonyereza mu by’ekemiko  mu labalatore n’amasomero ga ssaayansi.

Minisita alambudde pulojekiti ez’enjawulo ezikolebwa ku yunivasite omuli ebyuma ebyanguyiza emirimu gy’amakolero, tekinologiya ow’omulembe, n’obunoonyereza obugendereddwamu okutumbula eby’obulimi, eby’obulamu n’amakolero. Abayiiya bamwanjulidde  ebikolwa ebyatandise dda n’ebipya ebikyagenda okutandikibwako okusobola okuyamba Uganda okukendeeza ku kwesigama ku bintu ebiva ebweru w’eggwanga.

Mu kwogera eri abamawulire Hon. Akiiki yagambye nti gavumenti egenda kwongera okuwagira eby’obunoonyereza kubanga bye bimu ku bisumuluzo eby’okutumbula enkulaakulana y’eggwanga.

Department y'byobulimI ne bio system e Makerere

Department y'byobulimI ne bio system e Makerere

"Minisita wa Ssaayansi, Tekinologiya n'Obuyiiya, Hon. Eng. Jonard Asiimwe Akiiki, agambye nti tekikyamala kukola kunoonyereza oba obuyiiya ne busigalira mu mabasa g'amasomero oba mu Papula za mawulire , agambye nti omukulembeeze w'e gwanga  Yoweri Kaguta Museveni aba ayagala okulaba ebyavudde mu kunoonyereza nga bifuuse ebintu ebikolebwa, ebitundibwa ku katale era ebireeta emirimu n'ensimbi mu ggwanga."

Akiiki ategeezezza nti Uganda erina abanoonyereza n'abayiiya bangi abalina ebirowoozo ebirungi, naye waliwo obwetaavu bw'okutwala obuyiiya okuva mu kunoonyereza ne bufuuka ebintu ebigasa abantu mu bulamu bwa buli lunaku. agambye nti obuwanguzi bw'okunoonyereza bulabikira mu ngeri gye bukyusaamu obulamu bw'abantu n'okutumbula ebyenfuna by'eggwanga.

Hon,Akiiki agambye okulambula tekinologiya n'obuyiiya kwa kweyongera   n'amakampuni ag'obwannannyini,  okusobola okuleeta ebintu ebiyiiya ku katale.

Minisita Jonard Asiimwe Akiiki wamu ne Chansala wa yunivasite y'e Makerere pulof.Barnabs Nawangwe nga balambula

Minisita Jonard Asiimwe Akiiki wamu ne Chansala wa yunivasite y'e Makerere pulof.Barnabs Nawangwe nga balambula

Minisita agambye nti yunivasite ng’e Makerere erina obusobozi obw’amaanyi okukola  ku bizibu by’abantu ba bulijjo nga ekozesa ssaayansi n’obukugu bw’abavubuka. Abasabye okukola obunoonyereza obulina amakulu era obusobola okufuuka bizinensi n’emirimu egireetera abantu ensimbi.

Mu College of Engineering, minisita alabudde  ebyuma n’enkola empya ezikolebwa abayizi n’abasomesa omuli ebyuma by’amasannyalaze, eby’obuliimi , n’ebirala ebikozesebwa mu makolero. asiimye omulimu ogukolebwa n’agamba nti tekinologiya oyo alina okutwalibwa ku katale abantu basobole okuguganyulwamu.

Era alambudde ebitongole ebikola ku by’ekemiko n’obunoonyereza mu ssaayansi, gye yalagiddwa emirimu egyekuusa ku kukola eddagala, okulongoosa eby’obulamu, n’okunoonyereza ku ngeri Uganda gy’esobola okukozesa eby’obugagga eby’obutonde mu ngeri ey’omulembe.
Abanoonyereza baasabye gavumenti okwongera okubawa ensimbi ez’okunoonyereza, okulongoosa ebikozesebwa mu labolatory, n’okubayamba okutwala ebyo bye bayiiya ku katale. 

Olugendo lwa Hon. Asiimwe Akiiki ku Makerere ne mulago ku college  of health science lusuubirwa okuggyamu enkolagana empya wakati wa gavumenti n’abanoonyereza, nga kigendereddwamu okutumbula obuyiiya, okukola emirimu, n’okufuula Uganda eggwanga erikulembera mu by’obunoonyereza ne tekinologiya mu kitundu kya Afrik

Tags: