Amawulire

Abadiventi basabiddwa okugondera ekiragiro kya Gauvmenti eky'okukola bulungibwansi

Bino byayogeddwa Omulabirizi wa Central Uganda Conference David Ssimwogerere mu bubaka bwe yatisse omusumba Damiano Kato Bbaale bwe yabadde ku mukolo gw’okusonda ensimbi okugaziya ekkanisa y'Abadiventi e Kanyanya.

Abadiventi basabiddwa okugondera ekiragiro kya Gauvmenti eky'okukola bulungibwansi
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

AB'ENZIKIRIZA y'Abadiventi bakubiriziddwa okugondera ebiragiro bya Gavumenti bye yayisizza ku by’okulongosa eggwanga buli lunaku olusembayo mu mwezi.

Omusumba Damiano Kato Eyakiikiridde Omulabirizi Wa Central Buganda ng'abuulira.

Omusumba Damiano Kato Eyakiikiridde Omulabirizi Wa Central Buganda ng'abuulira.

Bino byayogeddwa Omulabirizi wa Central Uganda Conference David Ssimwogerere mu bubaka bwe yatisse omusumba Damiano Kato Bbaale bwe yabadde ku mukolo gw’okusonda ensimbi okugaziya ekkanisa y'Abadiventi e Kanyanya.

Yasiimye Gavumenti okubaddiramu okulonda olunaku olulala olutali lwa Ssabbiiti nabo okusobola okwenyigira mu nteekateeka eno.

Omusumba Kato yakubirizza abantu ba Katonda mu ddiini zzona okubakwasizaako mu mulimu gw'okuzimba ekkanisa bwe yasimbulizza ekyawandiikibwa okuva by’omumirembe ekisooka 29:3 mwe yaweeredde eky’okulabirako kya Kabaka Daudi nti naye bwe yali azimba ennyumba ya Katonda yatuukirira bakabaka abaali bamuliraanye okumukwasizaako.

Omusumba Kato Ng'atema evvuunike Okuzimba Ekkanisa Y'abadiventi E Kanyanya. (1)

Omusumba Kato Ng'atema evvuunike Okuzimba Ekkanisa Y'abadiventi E Kanyanya. (1)

Yasabye Abakristaayo okuwaayo eri Mukama waffe n'okwagala kubanga bwe banaateeka okwagala mu mulimu gwa Katonda bijja kusoboka.

Ono bwe yabadde abuulira yategeezezza nti buli muntu mu kkanisa alina obusobozi okutuukirira omuntu asobola okubayambako okumaliriza omulimu gw'okuzimba ennyumba ya Mukama.

Yabakubirizza okubeera omuntu omu bagatte amaanyi mu kutuukiriza pulojekiti y'okuzimba.

Omusumba w'ekkanisa eno, Simon Kisakye yategeezeza nti yatandikibwawo mu 1987 nga mu kiseera kino etuuza abantu 250 wabula olw'omuwendo gwabwe okugejja tekyabamala

Agamba nti ekkanisa eno emaze emyaka 39 bukyanga  etandikibwawo wabula baagala bagigaziye batuuke okujaguza emyaka 40 nga ekifo kibamala.

Mark Williams Kikomeko akulira ebyenkulaakulana n'okuteekateeka ku kkanisa eno agamba beetaaga akawumbi kamu okumaliriza ekkanisa eno era ng’esuubirwa kumalirizibwa mu July 2027 nga yaakuteekebwa ku mutindo era etuuze abantu abawera 450.

Tags:
Amawulire
Kiragiro
Gavumenti
Bulungibwansi
Kugondera