Amawulire

Omuvubuka akubye munne ejjinja n'amutta lwa kuwagira ssentebe mulala

OMUVUBUKA avudde mu mbeera, n'akuba munne ejjinja n'ebikonde ebimusse, bwe bafunye obutakkaanya ku buwagizi bwa bassentebe ba LC1 abeesimbyewo.

Omuvubuka akubye munne ejjinja n'amutta lwa kuwagira ssentebe mulala
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUVUBUKA avudde mu mbeera, n'akuba munne ejjinja n'ebikonde ebimusse, bwe bafunye obutakkaanya ku buwagizi bwa bassentebe ba LC1 abeesimbyewo.

Nelson Masereka 30, omutuuze w'e Kisanga mu muluka gwa Maliba e Kaseese, y'akubiddwa ejjinja ku mutwe erimusse bwe bafunye obutakkaanya ne munne ategeerekeseeko erya Sowedi.

Kigambibwa nti bano bombi nga bali e Kisenga, bafunye obutakkaanya mu buwagizi mbu ono kwe kukwata ejjinja n'alimukuba ku mutwe n'amukuba n'ebikonde n'amuleka ng'azirise n'abulawo.

Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori, Elly Maate, agambye nti, Masereka bamututte mu ddwaliro lya Rukoki kyokka n'afa nga yaakatuusibwa. Agasseeko nti Sowedi, bamukwatidde Bunyangabo era nga bategeka kumutwala Kasese.

Tags:
LC1
Jjinja
Ssentebe