ABANTU 1,711 abagambibwa okwenyigira mu kubba n'okugula essimu enzibe, be bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu Kampala n'emiriraano mu wiiki ebbiri eziyise.
Kitegeezeddwa nti abamu ku bano, 120 ,bayimbuddwa ku kakalu ka poliisi, 503 ne babalabula ne babayimbula, 954 ne basindikibwa mu kkooti , 137 bakyabanoonyerezaako.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso okuzuula bonna, abali emabega w'omuze guno.