Amawulire

Omujaasi eyalondodde muganzi we n'amuttira gye yafumbirwa yasooka kuloopa mu baabuyinza

Ettemu lino, lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza eggulo mu zzooni ya Kibira Cell B e Masajja ku lw'e Busaabala, omujaasi Cpl Allan Tinyefunza ow'e Ntebe, bwe yalumbye muganzi we Barbara Ntungire  27, n'amukuba amasasi agaamutidde mu nnyumba egambibwa okuba ey'omusiguze naye ne yetta.

Omujaasi eyalondodde muganzi we n'amuttira gye yafumbirwa yasooka kuloopa mu baabuyinza
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omujaasi eyakubye muganzi we amasasi naye ne yetta, yasooka kuloopa nsonga ze mu boobuyinza ku butukkaanya bwe babadde balina ne muganzi we.

Ettemu lino, lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza eggulo mu zzooni ya Kibira Cell B e Masajja ku lw'e Busaabala, omujaasi Cpl Allan Tinyefunza ow'e Ntebe, bwe yalumbye muganzi we Barbara Ntungire  27, n'amukuba amasasi agaamutidde mu nnyumba egambibwa okuba ey'omusiguze naye ne yetta.

Kitegeezeddwa nti bano babadde n'obutakkaanya mu maka era ng'ensonga omusajja yali yaziroopa ne bagezaako okubatabaganya.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mulago okugyekebejja ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Muganzi
Kulondoola
Kufumbirwa