Poliisi y’e Matugga ekutte abamu ku bavubuuka abeenyigira mu kubbisa emmundu ne batta abantu era ebadde wamu n’aba flying squard.

Omu ku baakwatiddwa
Abaakwatiddwa kuliko Micheal Mutyaba ne Paul Bazalanga nga bano kigambibwa nti nga July 14, 2026 ku ssaawa 7:00 ez’omu ttuntu baalumba Rafik Gardens ekisangibwa mu Kiti mu tawuni kkanso y’e Kasangati ne banyaga abantu abali mu bbaala eno amasimu era ne baleka nga bakubye maneja w’ekifo kino Ambrose Akampulira.

Omulala gwe baakutte ng'awunzise omutwe wansi.
Bazalanga ne Mutyaba kw’olwo baali baali bambadde engoye za magye era ng’amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti abantu bano mu kubakwata baabasazne n’emmundu ekika kya AK- 47 ne magaziini bbiri nga kw’otadde n’amasasi 58 wamu n’engoye za magye ate nga si banamagye.

Maneja wa Rafik gwe baakuba amasasi
Akampulira agambye nti abantu bano baamumenya amagumba. Bano baasiimye poliisi olw’omulimu gw’ekoze okulaba ng’ekwata abantu bano kuba nti babadde bafuuse ekizibu ate nga na kati okuva bino bwe byaliwo abantu baakendeera okujja mu kifo kye.
Abakwate bakuumibwa ku poliisi y’e Matugga ng’okunoonyerezza bwe kugenda mu maaso.