AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku mmere aka Uganda Parliamentary Alliance on Food and Nutrition Security (UPA-FNS) kasabye Gavumenti okubaga etteeka ku mmere n'endiisa.

Omubaka Brenda Nabukenya ng'ayogerako eri abantu
Mu nsisinkano eno baayise ababaka ba palamenti okujja okwetaba mu kubangulwa okunamala ennaku bbiri ku mmere n'endiisa mu Uganda.

Ababaka bwebabadde beetabye mu musomo gw'ebyemmere
Okeyoh yannyonnyode nti ababaka ba palamenti ya 12 okujja awamu okubangulwa okubaga amateeka nga bataddemu emmere n'endiisa kubanga buli lw'olya obulungi weewala okumira eddagala obulamu bwo bwonna.
Uganda erima emmere emala wabula ebitundu ebisinga bitunda emmere ne bigyemalako : ekitundu nga Busoga abawala bafunye embuto okusobola okufuna emmere etali waka.

Omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Luweero, Brendah Nabukenya yategeezezza nti ekitundu nga Karamoja kirina ettaka ddene nnyo okutali kintu kyonna ebbanga eggwanga lye limaze n'olwekyo gavumenti esaanye okuvaayo eyongere okubalung'amya ku by'emmere.
Baagala era gavumenti eyambeko okuwera eddagala erifuuyira ebirime ery'ebicupuli kubanga livaako endwadde n'okukendeeza omutindo gw'emmere.