Amawulire

Poliisi erabudde abataamatira na byava mu kulonda bassentebe ku ffujjo lye bakola

Poliisi eyongedde okulabula abatuuze abataamatira na kulonda okwaliwo mu byalo okwa LC1, okwewala ebikolwa eby’efujjo nti naye ensonga baziyise mu maateka.

Poliisi erabudde abataamatira na byava mu kulonda bassentebe ku ffujjo lye bakola
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi eyongedde okulabula abatuuze abataamatira na kulonda okwaliwo mu byalo okwa LC1, okwewala ebikolwa eby’efujjo nti naye ensonga baziyise mu maateka.

Kitegeezeddwa nti mu byalo ebimu, abantu beekalakaasa n'okulaga obutali bumativu ku ngeri okulonda kwa LC1 gye kwatambula , nti ekibaviiriddeko okukola effujjo , poliisi ky'egambye nti kikyamu.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, abawadde amagezi okuyita mu mitendera emituufu,  basobole okufuna obwenkanya so si kwenyigira mu bikolwa bimenya mateeka kuba baakukwatibwa.

Ayongedde okukikakasa nga bwe bataddewo obukuumi mu kulonda okugenda mu maaso okulaba ng'abatuuze balonda mu mirembe.

Tags:
bassentebe
Bassentebe
Kulonda
Ffujjo
Kukola
Kulabula