Amawulire

Ddereeva wa Sinotruck poliisi gwe yayimirizza n'agaana emukwatidde Maya nga mutamiivu muzibu!

Martine Oponya 25, agambibwa okuba ng'abadde avuga loole eno nnamba UA 367AM, bamukwatidde ku musanvu e Maya oluvannyuma lwa poliisi y'ebidduka e Mpigi okumuyimiriza n'atayimirira.

By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Ddereeva wa Sinotruck agambibwa okuvuga ng'atamidde, poliisi emukwatidde e Maya ku luguudo oluva e, Kampala okudda e Masaka.

Sinotruck gye yabadde avuga

Sinotruck gye yabadde avuga

Martine Oponya 25, agambibwa okuba ng'abadde avuga loole eno nnamba UA 367AM, bamukwatidde ku musanvu e Maya oluvannyuma lwa poliisi y'ebidduka e Mpigi okumuyimiriza n'atayimirira.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Michael Kananura, agambye nti okumwekebejja abadde atamidde nga talina na layisinsi emukkiriza kuvuga.

Akuuma akapima omwenge kaalaze nga yabadde atamidde ng'aweddeyo.

Tags:
Amawulire
Sinotruck
Polisi
Maya
Kukwata