ABANTU abatannamanyika, bawambye omuyizi wa S.4 ne bamusobyako , ne bamutuga, omulambo ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo oluva mu Nyendo okudda e Bukakata e Masaka.
Kigambibwa nti omuwala ono, yavudde awaka ku ssaawa 4:00 ng'agenda kukima empapula z'ebibuuzo bya mooko okuva eri mukwano gwe ku kyalo ekiddako, nti nga n'ekyazzeeko kukubira muganda we Sharifah Babirye ku ssaawa nga 10:30 ez’olweggulo ng'amutegeeza nga bwe yabadde agenda ku Sand Beach e Nabugabo.
Kigambibwa nti teyakomyewo ate n'essimu ye n’evaako nga n'ekyaddiridde kusanga mulambo gwe ku mabbali g'oluguudo oluva mu Nyendo okudda e Bukakata era omusango ne guggulwawo ku poliisi e Kako.
Ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti kitaawe , Ssaalongo Isa Sekitooleko aggyiddwako sitatimenti n'annyonnyola ebyabaddewo, era omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Masaka, ng'okunoonyereza bwe kukolebwa.
Kirowoozebwa, omugenzi baamutugisizza muguwa okuva mu kifo ekimu, omulambo ne bagutwala ne bagusuula mu kifo we gusangiddwa