Amawulire

Omukozi yeewaddeyo bamusibe ku lwa kkampuni gye bavunaana okulimira omuceere mu ntobazzi

Emmanuel Wijuri, akolera kkampuni ya Great River Agricultural Technology Co. Limited bamusindise mu kkomera ku lwa kkampuni eyo okulimira ebimera ebyobulabe mu lutobazzi olwa Ngenge-Atari-Sipi-Sironko wetland System nga tebalina lukusa okuva mu NEMA.

Omukozi yeewaddeyo bamusibe ku lwa kkampuni gye bavunaana okulimira omuceere mu ntobazzi
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Omukozi ayiiriddewo kkampuni omubiri, bamusindise mu kkomera lwa bakama be kulima muheere ne kaamulali mu ntobazzi.

Emmanuel Wijuri, akolera kkampuni ya Great River Agricultural Technology Co. Limited bamusindise mu kkomera ku lwa kkampuni eyo okulimira ebimera ebyobulabe mu lutobazzi olwa Ngenge-Atari-Sipi-Sironko wetland System nga tebalina lukusa okuva mu NEMA.

Wijuri gwe baasibye ku lwa kkampuni gy'akolera.

Wijuri gwe baasibye ku lwa kkampuni gy'akolera.

Munnamateeka wa kkampuni afubye okumatiza omulamuzi Gladys Kamasanyu nti bwe baba bavunaana kkampuni oyo eyeesowodde ku lwa kkampuni tasindikibwa mu kkomera , naye omulamuzi agambye nti ajja kusalawo nga August 17, 2026 bw’atyo n’asindika omukozi Wijuri mu kkomera.

Abadde mu kkooti eya Standards Utilities and Wildlife e Makindye omulamuzi n’amusomera emisango esatu ku lwa kkampuni gy’akolera era n’agyegaana.

Tags:
Amawulire
Kkampuni
Kulima
Muceere
Kusiba
Kuvunaana