Amawulire

Poliisi ekutte bbaasi bbiri ne badereeva baazo ne babaggalira lwa kuvuga bayizi nga tebalina bisanyizo

Ebikwekweto bya poliisi y'ebidduka, bikyagenda mu maaso mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo. 

Ebimotoka bya loole ebibadde bitambuza ebikajjo, ebikwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Ebikwekweto bya poliisi y'ebidduka, bikyagenda mu maaso mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo. 

E Maya ku luguudo lw'e Masaka awali e misanvu, poliisi ekutte bbaasi bbiri ne badereeva baazo ne babaggalira ku bigambibwa nti abazivuga tebabadde na baagi ng'era tebawereddwa lukusa kutambuza bayizi. 

Emmotoka ezibadde zitambuza abayizi

Emmotoka ezibadde zitambuza abayizi

Kigambibwa nti abayizi bagiddwamu ne babassa mu bidduka ebirala ne babatuusa mu bifo gye babadde bayina okugenda. 

E Ibanda waliwo takisi ekwatiddwa lwa kutikka kabindo dereeva bamukutte naye ne bamuggalira. 

E Njeru Jinja,  ebimotoka bya loole Mukaaga ebitambuza ebikajjo, bikwatiddwa lwakutikka kabindo era nga badereeva babaggalidde nga bakutwalibwa mu kkooti ku misango egy'enjawulo, okusinziira ku mwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura. 

Tags:
poliisi
Ebikwekweto
bbaasi
kutikka kabindo