MUNNABITONE omukukuutivu Alex Mukulu afudde naaleka bannabitone ne bannayuganda bonna mu kiyongobero.
Mukulu yafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu mu ttuntu ly’olwomukaaga, oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’atawaanyizibwa ekirwadde ky’ekibumba.

Munnabitone Alex Mukulu afudde
Mukulu w’omugenzi Alex Mukulu nga ye Victoria Lugayizi, agamba nti mutoowe aludde ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’eKibumba, era alwalidde ekiseera, nga basooka nebamutwalako mu ddwaaliro e Lubaga okumala omwezi nga gumu nebamujjanjabako natereeramu era nasiibulwa, wabula oluvannyuma lw’ekiseera kitono yaddamu natabuka nebamuddusa mu ddwaaliro e Kirudde gy’amaze wiiki bbiri ng’ajjanjabibwa okutuusa olw’omukaaga mukama bweyamuggye mu bulamu bw’ensi eno.

Victoria Lugayizi Mukulu w'omugenzi

Bannabitone mu Maka g'omugenzi
Munnakatemba Andrew Benon Kibuuka ategeezezza nti, Alex abadde munnabitone omujjuvu; omuyimbi w’enyimba, aziyiiya, atendeka amazina, azannya emizannyo, nga talanta zonna azirina. Obulamu bwe abadde yabuwa katemba nga talina kirala kyamanyiddwaamu, era ye nga bwaba talina pulopjekiti ya katemba gyakolako ng’adda ewuwe naasirika, afubutukayo nga waliwo ebya katemba ebirala byaliko.

Andrew Benon kibuuka ku ddyo n'abakungubazi abalala mu Maka g'omugenzi
Agamba nti omugenzi yeyaleetera katemba okufuuka bizinensi bannabitone nebatandika okumunogamu ssente, okusooka ng’abantu bagamba nti, okuzannya katemba gubeera mukwano na kukuza talanta, kyeyagaana n’ategeeza nti ogwo mulimu gwebalina okunogamu ssente era nekituukirira.
Agamba nti, nabo tebaategedde nyo kulwala kwa Mukulu, kubanga abadde wa twekisize nyo nga kizibu okumanya nti waliwo ekimuluma, kubanga ebiseera ebimu abaddenga yeekweka ate navaayo lumu, kale nga bamumanyiira mu mbeera eyo, ne kuluno balowooza nti bweguli sso nga yabadde alwadde butadda.