Amawulire

Omusajja afumise munne ekiso n'amutta lwa 2,000/- z'amukubyemu zzaala!

POLIISI e Bweyogerere, eri mu kuyigga omusajja agambibwa okufumita munne ekiso ekimusse, bwe babadde balwanira ssente za zzaala Shs. 2,000/.

Omusajja afumise munne ekiso n'amutta lwa 2,000/- z'amukubyemu zzaala!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Bweyogerere, eri mu kuyigga omusajja agambibwa okufumita munne ekiso ekimusse, bwe babadde balwanira ssente za zzaala Shs. 2,000/.

Bibadde mu zzooni ya Kireku e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira e Wakiso, mu bbaala ya Twine's Bar, ababiri bano Hamza Nuwamanya kati omugenzi ne Julius Katabani, bwe bafunye obutakaanya lwa shs 2,000/.

Kigambibwa nti bano bombi, baasoose kuzannya zzaala nti Nuwamanya n’aggyawo ssente 2,000/ ekyanyizizza Katabani ne batandika okuyomba.

Kitegeezeddwa nti nnyini bbaala , asasudde ssente ezo era n'abalagira okufuluma ekifo , nti ne bagenda mu maaso n'okuyomba nti era wano, Nuwamanya w'akubidde Katabani ekikonde, Katabani n'amufumita ekiso, Nuwamanya n'afiira mu ddwaliro e Mulago.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti bayigga Katabani avunaanibwe kyokka nga waliwo abalala basatu abakwatiddwa, bayambeko mu kunoonyereza.

Tags:
Musajja
Kiso
Kufumita
Kutta
Zaala
Kitalo