ABASUUBUZI b'omukatale ka Bivamuntuyo ku Kaleerwe basabye kampuni eziwola ssente nga zeeyambisa enkola eya 'Digito' ey'oku masimu okukkakkanya ku ssente z'amagoba ge basaba ku ssente ezeewolebwa .
Basanyufu nti ssente zino ezeewolebwa zibayambyeko nnyo okwongera mu bizinensi zaabwe naddala nga waliwo bye baagala okusuubula lwakuba oluusi bakaluubirizibwa okuzeewola n'okuzizzaayo olw'amagoba oluusi agazibinikibwako.

Omukungu wa MTN MoMo, Jemima Kariuki bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku katale k'oku Kalerwe

Okwogera bino babadde ku mukolo gw'okwaniriza aba MTN MoMo ababakyaliddeko mu katale era ne babanjulira empeereza empya ey'okwewola ssente ku ssimu . Kampeyini eno etuumidwa “Borrow, Payback, Neera Neera”,


Kyokka yasomoozezza abantu naddala bannabizinensi ssente zino okuzikozesanga obulungi zisobole okubazaalira amagoba .
Tonny Ssekandi nga naye akola ne MTN MoMo yakubirizza Bannayuganda okwewola ssente nga balowoozezza ku busobozi bwabwe okuzisasula, era basasule mu budde omuwendo gw’ensimbi ogubaweebwa gusobole okweyongera.
Empeereza eno okusinga yaakuyamba naddala Bannayuganda abatayinza kufuna mangu looni mu bbanka olw’ebisaanyizo ebingi ebiba byetaagisa.