ABANTU ababadde ku mulimu gw'okumenya ennyumba enkadde e Kijabijo cell mu muluka gwa Kimwanyi e Kira munisipaali , bagudde ku mmundu ekika kya AK 47 nga yalekebwa mu kizimbe ekyo.
Kigambibwa nti omu ku bantu, abaali babeera mu nnyumba eyo, baamukwata ku bigambibwa nti y'omu ku abo, abaakuba owa Mobile Money amasasi e Ntinda ne bamunyagako ssente mu 2024.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.