ABASAJJA basatu abagambibwa okwenyigira mu kubba ente ssatu, bakwatiddwa poliisi y'e Kasangati .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti abakwate bakkiriza ng'ennamba entuufu ey'emmotoka bweri UAP 661 N ng'eri endala ebadde njingirire.
Mu ngeri y'emu era poliisi e Katwe ekoze ekikwekweto, n'ezuula pikipiki egambibwa okuba enzibe, nnamba puleeti 12 , n'ebyuma bya pikipiki endala e Nnyanama Bunnamwaya.
Kawala agamba nti bayigga ali amabega w'obubbi buno nti kuba yadduse nga baakatuuka ewuwe.