Amawulire

Bulungi bwa nsi nga bwe yabadde e Nansana mu bifaananyi 5

ABATUUZE b’e Nansana n’abakulembeze baabwe bajjumbidde bulungibwansi ow'obuwaze nga bano bayonjezza amasiro g’e Wamala, akatale k’e Katooke n’ebitundu ebirala .

Bulungi bwa nsi nga bwe yabadde e Nansana mu bifaananyi 5
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision

ABATUUZE b’e Nansana n’abakulembeze baabwe bajjumbidde bulungibwansi ow'obuwaze nga bano bayonjezza amasiro g’e Wamala, akatale k’e Katooke n’ebitundu ebirala .

Abatuuze nga bayonja Akatale K'e Katooke

Abatuuze nga bayonja Akatale K'e Katooke

Bano nga bakulembeddwa RDC wa Nansana Charles Lwanga baakedde kukunga batuuze okujjumbira okuyonja ebitundu byabwe nga wano abeebyokwerinda beenyoode n’abantu naddala aba bodaboda abaabadde bagaanye okwetaba mu kuyonja ekitundu kyabwe.

Ab'e Nansana Oluvannyuma Lw'okwetaba Mu Kulongoosa E Wamala

Ab'e Nansana Oluvannyuma Lw'okwetaba Mu Kulongoosa E Wamala

RDC Lwanga yategeezezza nga kaweefube ono bw’ayambye abatuuze okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe mu kukuuma ekitundu kyabwe nga kiyonjo.

Rdc Lwanga Wakati N'ab'e Nansana Nga Beetabye Mu Kulongoosa.

Rdc Lwanga Wakati N'ab'e Nansana Nga Beetabye Mu Kulongoosa.

Bano baalongoosezza amasiro g’e Wamala, akatale k’e Katooke n’ebitundu ebirala era abatuuze ne basaba gavumenti eyongere ebimotoka ebinona kasasiro okutangira kasasiro okwetuuma ku nguuddo nga bwe gwali mu kiseera ky'omwezi guli.

Tags:
Wamala
Masiro
Bulungibwansi
Nansana
Kulongoosa