Amawulire

Poliisi ekutte abagambibwa okwekobaana ne batunda ettaka okuli ekitebe ky'e Ggombolola e Iganga

ABANTU Bataana abagambibwa okwekobaana ne batunda ettaka okuli ekitebe ky'e Ggombolola y'e Nakalama e Iganga, bakwatiddwa poliisi.

Poliisi ekutte abagambibwa okwekobaana ne batunda ettaka okuli ekitebe ky'e Ggombolola e Iganga
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU Bataana abagambibwa okwekobaana ne batunda ettaka okuli ekitebe ky'e Ggombolola y'e Nakalama e Iganga, bakwatiddwa poliisi.

Ettaka lino, ligambibwa okubaako yiika 4.45 acres , bakwatiddwa ku biragiro bya RDC e  Iganga oluvannyuma lwa Tom Nkalanguke akola mu ofiisi z'ettaka okwemulugunya.

Abakwatiddwa, kuliko Hamidu Kawanguzi 38, ssentebe wa LC111 ow'e Ggombolola y'e Nakalama, Deo Mia Wakaba 47 Senior Assistant County Chief / Principal Township Officer , Sadat Aniswali 29 director Dell wall International Uganda Ltd.

Abalala ye Isima Mbudu amanyiddwa nga Museffu 35 ali ku kakiiko k'ebyettaka ne Mamahad Swaga ssentebe wa LC Nakalama North.

Kigambibwa nti wakati wa April 2025 ne Feb 2026, abakungu e Nakalama, bekobaana ne bezza ettaka lya gavumenti ne balifunirako n'ebyapa ne balitunda obukadde 130 ne 140 era ng'abakwate ,bakuumirwa ku poliisi e Iganga okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kasadha.

Tags:
Ggombolola
Tom Nkalanguke
Iganga
poliisi.