Polisii ekutte omusajja agambibwa okutta muganzi we ow'emyaka 56 n'amweziikira , oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya naye e Buyende.
Aggrey Lubaale 40 ,omutuuze mu ggombolola y'e Bugaya e Buyende, ye yakwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti yasse Noor Namukose 56, abadde muganzi we.
Kino kiddiridde okufunamu obutakkaanya , Namukose n'agoba Lubaale ewuwe ekirudde nga kimunyiizizza , nti kwe kumuteega n'amutta , omulambo n'aguziika.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti Lubaale bamukwatidde Luuka gy'abadde yeekwese era ne bamuzzaayo e Buyende ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.