EMMOTOKA eyabbiddwa okuva e Bukuya Kassanda, poliisi egikwatidde Matugga n'abantu basatu abagambibwa okuba mu lukwe lw'okugibba.
Ddereeva yabadde ava kugikozesa mirimu e Lubaali nti kyokka ne bagibba nga bukya ku ssaawa 9:00 nti n'oluvannyuma abaserikale ne bagikwatira e Matugga era abantu basatu abaagibaddemu ne babaggalira .
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti , bagenda kubaggya ku poliisi e Matugga okubazza e Kassanda, babitebye.