TEHRAN, Iran
AMERICA ne Iran bazzeemu okukubagana. Emmeeri za Iran ssatu ezibadde zikukusa amafuta, zikubiddwa mu kagolomolo n’ebitundu ebirala okusinziira ku ggye lya America erya Central Command ku Lwomukaaga.
Emu yakubiddwa ku kazinga ka Kharg Island, Iran w’esinga okutikkira amafuta era yabadde ekubyeko n’eteta.
Okusinziira ku mawulire ga BBC, emmeeri ezo America egamba nti zaakubiddwa ne zisaanyizibwawo obutaddiramu ddala kukola olw’okulagira abagoba baazo bayimirire ne beerema okukebera ebiziriko.
Ezaabadde zitambula ze zaasoose okukubwa olwo eyabadde etikka ku kazinga nayo n’ekubwa. Kyokka Iran egamba nti nayo yeesasuzza n’ekuba emmeeri z’amafuta ezirina kakwate ne America, ezaabadde zisalinkiriza mu kagolomolo. We bijjidde nga Pulezidenti Donald Trump yaakagamba nti, ekiri mu Iran si lutalo wabula, okulwana
okutonotono kwe yayise ‘small potatoes.’ Ebyo nabyo byaddiridde minisita wa America ow’ebyokwerinda Pete Hegseth okugamba nti, singa Iran enaazannyira ku mmeeri za America, bagenda kusaanyaawo ezaayo zonna. Central Command yagasseeko nti, Iran yagezezzaako okukuba emmeeri za America wabula, buli kyakulwanyisa eggye lya Islamic Revolutionary Guard Corps kye lyabadde lisindika nga biwugulwa.