MMENGO esabye ababaka ba Palamenti abava mu Buganda okwongera amaanyi mu kulwaniriraomugabo gwa Buganda ku keeki ya Uganda ey’awamu kubanga emyaka egiyise eganyuddwa kitono mu nteekateeka za Gavumenti.
Okusaba kuno kwayise mu Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ng’asisinkanye akabondo k’ababaka ba abava mu Buganda ku Lwokutaano e Bulange. Mayiga yagambye, Buganda ezze eseerebwa mu by’enkulaakulana omuli enguudo, amasannyalaze, emirimu n’ebifo by’obukulembeze ng’ate ebyenfuna bya Uganda, ebitundu 70 ku buli 100 bisangibwa mu Buganda.
Yanokoddeyo enteekateeka okuli ey’ensimbi z’oku miruka (PDM) n’agamba nti zino tezigabiddwa okusinziira ku bungi bw’abantu abali mu miruka gino ng’ate Buganda erina emiruka mingi ssaako n’enkola y’okusala ebitundu ebikiikirirwa mu Palamenti n’agamba nti Buganda erina ababaka batono okusinzira ku bungi bw’abantu b’erina.
“Enkola ya ‘Parish Development model esaana kugerekebwa okusinziira ku bungi bw’abantu, gwe mugabo gwaffe. Mu Buganda mulimu emiruka mingi kubanga era ffe bangi naye ate ensimbi ezigabibwa teziggyaayo bungi bw’abantu,” Mayiga bwe yayogedde.
Buganda ekiikirirwa ababaka 103 ate Karamoja Mayiga gye yagambye nti erina abantu akakadde kamu, ekiikirirwa 26, ekitalaga bwenkanya. N’agamba Buganda yandikiikiriddwa ababaka 260.
Era yasabye ababaka bano okulwanirira ensonga ssemasonga ettaano eza Buganda okuli okunyweza ekifo kya Kabaka mu Uganda ey’awamu, waleme kubeerawo muntu oba bantu abamutyoboola. Yeebazizza Gavumenti olw’enteekateeka ennungi gy’ekozeokuvumbula amafuta n’okugasima gagende mu katale. Ssentebe w’akabondo k’ababaka bano era nga ye Minisita omubeezi ow’ebyobuvubi, Migadde Nduggwa
yabuulidde Katikkiro ng’akabondo bwe kaatandise edda okusakira Buganda n’anokolayo eky’okukkirizisa Gavumenti okuddamu okugabira abalimi emmwaanyi n’ebigimusa